Ab’oluganda 3 basirikidde mu nnabbaambula w’omuliro akutte ennyumba mu kiro nga bebase.
Abafudde kuliko maama n’abaana be 2, ku kyalo Kinaawa ku luguudo lwe Nakawuka mu Kyengera town council mu district ye Wakiso.
Okusinziira ku bómuliraano, baalabye omuliro ogwámaanyi amatumbi budde nga guva mu nnyumba nebagezaako okumenya enziji z’ennyumba okutaasa.
Bagenze okubatuukako nga maama n’omwana omu bamaze okufa, omulala bamusanze akyali mulamu wabula babadde bamuddusa mu ddwaliro naafa.
Police emirambo egitutte mu ggwanika ly’e ddwaliro e Mulago nókunoonyereza ekivuddeko omuliro guno.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif