
Maama eyakkakana ku mutabani we ow’emyaka 10 námukuba nómumutusaako ebisago, omulamuzi amuddiddemu námulabula obutaddamu kukuba ku mwana oyo.
Omulamuzi wa kooti ku Kampala City Hall Fatuma Nabirye, yalagidde
Apolot Deborah owémyaka 30, obutaddamu kukuba mwana nóbutaddamu kulinnyirira ddembe lyábaana.
Apolot Deborah omutuuze we Dungu zone e Kisaasi Nakawa division, omusango gwókukuba omwana námutusaako obuvune gumusse muvvi, wabula omulamuzi asazeewo kyakumulabula, nti kubanga yemenye ate tamalidde kooti budde.
Obujulizi bulaga nti Apolot Deborah omusango gwókukuba omwana yaguzza nga 9th May, 2022.
Baliraanwa ba Apolot bebaakwata akatambi akalaga Opolot ngákuba omwana ensamba ggere, okumunyiga ensingo nókumukusaku ku luggi lwendabirwamu nakubawo omutwe.
Akatambi kano bwekasaasaana ku mutimbagano police ya Kira Road yamunoonya némukwata naggalirwa.
Apolot agamba nti yatuma mutabani we ono mu katale ng’amuwadde shillings enkumi ttaano agule ebyokukozesa awaka, wabula omwana teyakomawo.
Yamunoonya naamuzuula naye sente yasanga yazikozesezza birala kwekumukuba.