Police mu district ye Buduuda etandise omuyiggo gw’Omukazi akkakkanye ku baana beyezaalira naabatematema omubiri gwonna nebafa.
Enjega eno egudde ku kyalo Bukibumbi ekisangibwa mu gombolola ye Bukalasi mu district ye Buduuda.
Wemetsa Sylvia ateeberezebwa okufuna ekikyamu ku mutwe, abase ejjambiya naatematema batabanibe okubadde Mushikoma Junior owemyaka 6 nemutoowe Kuloba Emma ow’emyaaka 5.
Omwogezi wa police mu bitundu bye Mbale Rogers Taitika, agambye nti Wemetsa olukoze ekikolwa kino nadduka era negyebuli eno tewali amanyi weyeekukumye, ekiwalirizza police n’abatuuze okutandika omuyiggogwe.
Bisakiddwa: Kato Denis