Entiisa ebuutikidde abatuuze ku mwalo gwe Kiwuluguma mu ggombolola ye Ngogwe mu district ye Buikwe, waya y’amasanyalaze bweyekonye ku wire ye engoye omukyala z’abadde ayanula olwo amasanyalaze negamukuba nafiirawo mbulaga.
Omutuuze afudde ye Nafula Neolin nga ono abade mupangisa era nga kitegerekese nti bano babadde baayingiza amasanyalaze mu nnyumba yabwe okuva ewa mulirwana nga beyambisa waya ezabulijjo.
Olw’enkuba efudemba ennaku zino waya eno yegase ne waya y’engoye, olwo bwabadde ayanula kwe kumukuba.
Police okuva e Ngogwe ne Lugazi batuuse okutwala omulambo okugwekebejja, era akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku police ye Lugazi Afande Paul Mugenda alabudde abatuuze okukomya okweyambisa ba kanyufu okuyingiza amasanyalaze mu mayumba gabwe.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher