Omulabirizi we Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Bbanja yakulembeddemu okubuulira, mu kusabira Ssaabasajja Kabaka ku matikkira ge ag’omulundi ogwa 31 mu lutikko e Namirembe, nalabula bonna abatyoboola ekitiibwa Kya Nnamulondo okweddako.
Agambye nti emitimabagano gyajja kuganyula nsi nga gikozesebwa mu kukulaakulanaya ensi n’okukulaakulanaya abantu kinnoomu, sso ssi kujikozesa kuvvoola Bwakabaka n’abakulembeze.
“Empologoma bwenyiiga eva mu mbeera, Ssonga bwebeera nsanyufu nebekulembera babeera basanyufu, n’olwekyo buli muntu esaawa eno asaanye okufaayo eri obulamu bwa Kabaka nga tumusabira awone bulungi”
Mungeri eyenjawulo bishop Bbanja yebazizza Nyininsi Empologoma ya Buganda, olw’Ebyo ebituukiddwako omuli emikutu gw’ebyempuliziganya,enkulaakulana y’Abantu evudde mu kulima Emmwaanyi, ebyenjigiriza n’Enteekateeka endala nyingi Beene zakulembeddemu.
Bishop Bbanja asabye abazadde okusomesa abaana obukulu bw’okuzaawo obutonde bw’ensi, n’agamba nti lisaanye libeere kkatala buli mwana yenna okusimbayo omuti ogw’engeri yonna, ogutaaguddwa abantu abakulu, n’asaba n’obukulembeze bw’ennono obwenjawulo okukola kye kimu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Obulabirizi bwe Namirembe olw’enteekateeka y’okukuza emikolo gy’Amatikkira g’Empwalabwa.
Katikkiro agambye nti mu myaka 31 nga Nnyinimu alamula, Obwakabaka buyise mu kusoomoozebwa kungi, wabula nnyininsi Ssaabasajja Kabaka ye mmwene, n’abeera munywevu okuyita mu kusoomoozebwa kwonna, omuli n’Obwakabaka zokuba nti tebunafuna federo ey’amateeka., nti naye Ssaabasajja akulembeddemu Obuganda okwekolera ku federo ey’ebikolwa.
Agambye nti mu mbeera zonna ezisoomooza Obwakabaka, Obumu y’empagi ezze ebuwanguza, era abantu ba Buganda kyebaava bakolera awamu Obwakabaka nebuddawo mu 1993, era Omutanda n’atikkirwa e Naggalabi Buddo.
“Wayinza okubaawo abantu abagezaako okututawaanya, naye okutuwangula kikafuuwe”
‘Okusinziira ku bikolwa byaffe, buli ky’okola wefumiitirize oba nga kisanyaawo Obwakabaka oba nga kibuwanguza” – Katikkiro
Obukulembeze bw’Ennono obwenjawulo bukiikiriddwa mu kusabira Omutanda,okubadde Omuhiikirwa w’Obukama bwa TooroSteven Kiyingi Amooti , Owekitinisa Andrew Byakutaaga ku lw’Obukama bwa Bunyoro, n’abakulembeze abalala bangi.
Okusaba kwetabiddwako bannaddiini bangi ddala okuva mu nzikiriza ezenjawulo, abalabirizi bangi abavudde mu bulabirizi obuli mu Bwakabaka bwa Buganda, nga bakulembeddwamu Ssaabalabirizi Dr.Stephen Kazimba Mugalu n’omulabirizi w’e Namirembe Moses Bbanja.
Michael Lubowa owa Central Buganda, Copriano Bukenya owa Mityana eyawummula, Wilberforce Kityo Luwalira owe Namirembe eyawummula, Samuel Balagadde Ssekadde owe Namirembe yawummula, Ssebaggala owa Mukono eyawummula, Wilson Mutebi owe Mityana eyawummula, Matovu Jackson owa Central Buganda eyawummula, Henry Katumba Tamale mulabirizi wa West Buganda, omulabirizi Hannington Mutebi omubeezi owa Kampala
George Ssennabulya owa central Buganda eyawummula.
Eyali omumyuka wa president Edward Kiwanuka Ssekandi, akulira oludda oluvuganya government Joel Ssenyonyi, Commissioner wa Parliament Mathias Mpuuga Nsamba, Katikkiro wa Buganda eyawummula Mulwanyammuli Ssemogerere nabo babaddewo ku mukolo.
Minister wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda y’akiikiridde Ssaabaminister Robinah Nabbanja.
Nnaalinnya Sarah Kagere n’owek Bbaale Mugera, Nnaalinnya Dinah Kigga nabo betabye mu kusaba kuno.
Mgrs Charles Kasibante akiikiridde Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala, ne Mgsr Wynand Katende, Supreme Mufti wa Uganda Muhammad Ggalabuzi, bannabyabufuzi abenjawulo, n’abantu abalala bangi betabye ku mikolo gy’Okusabira Omuteregga.