Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kitundu kye Kavule Katende kilometres 20 ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Lukululana ebadde yeetisse amafuta No. UAX 996L eyomumaaso ne UAL 712 X eyemabega, ewabye neyingirira ekizimbe.
Abafudde ye Bruce Mazinga, omulala ategerekeseeko limu lya Kizza, ate owokusatu gwebaakazaako erya Siiti emumenyemenye naddusibwa mu ddwaliro lya Double – Cure ngaali mu mbeera mbi.
Abadduukirize nga bakulembeddwamu Kansala w’e Mpigi Bukenya Musa bategeezezza nti balabiddewo nga lukululana ebadde ewenyuuka obuweewo ng’eva ku kkubo n’eyingirira ekinywero ky’omwenge, eyo gyesanze abantu nebatomera, esibidde ku kizimbe ekirala neyimirira, wabula waliwo nawo abafunye ebisago ebitonotono.
Ddereeva n’omuyambi we bavuddemu nga tebafunye bisago.
Kansala Bukenya Musa asabye ba ddereeva okukendeeza okuvuga endiima.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo