Emmotoka lukululana ebadde etisse omuceere ekutte omuliro n’ebeengeya.
Ebaddeko No. UAH 395M ng’ebadde eva Busia ng’edda Iganga.
Abadduukirize bagamba nti emmotoka eno ebadde etambula wabula ddereeva bw’ayimiriddeko ku town ye Iduudi, omuliro neguva mu mupiira n’etandika okwaka.
Police ye Iduudi mu district ye Bugweri yazoobye n’abavubuka ababadde bagufudde omugano nga banyagako ensawo z’omukyere n’obukuta nga kyejje eyandike okwaka.
Police ebadde eduumirwa ASP Baluku Alfred esobodde okubaako byetaasa ku mmotoka nga tebinakwata muliro.
Bisakiddwa: Kirabira Fred