Police ekutte Luggya Bbosa Tabula ateeberezebwa okutta Lwomwa eyali omutaka omukulu ow’akasolya k’ekika ky’e Ndinga omugenzi Eng. Daniel Kakeedo Bbosa.
Okusinziira ku mwogezi wa Police mu ggwanga Rusoke Kituuma , luggya Tabula akwatiddwa ku kyalo Kimerika Namulonge mu gombolola ye Busukuma mu district ye Wakiso.
Omugenzi Eng. Daniel Kakeedo Bbosa yakubwa amasasi nga 25 February,2024 bweyali anaatera okutuuka mu maka ge e Lungujja mu gombolola ye Lubaga.
Abantu 2 abaali batambulira ku pikipiki baamusindirira amasasi mu mmotoka ye, wabula omu abatuuze baamukwata nebamutta, ate omulala agambibwa okunasulira ddala amasasi bamukuba nasigalako kikuba mukono, police weyatuukira nemutaasa n’atwalibwa mu ddwaliro okujanjabibwa.
Waliwo abantu abalala baakwatibwa era kati bawerennemba mu kooti n’emisango gy’obutemu.
Wabula Luggya Bbosa Tabula agambibwa okuluka olukwe lw’okutta Omutaka, abadde yasaako kakokola tondeka nnyuma era police ebadde emuyigga, nga yali yamusaako n’obukadde bwa shs 10 eri omuntu yenna eyali amanyi waali.
Omwogezi wa police Rusoke Kituuma agambye nti Luggya Bbosa Tabula era avunaanibwa n’emisango emirala, egikwata ku buwangwa bw’abantu 17 obwasangibwa mu ssabo lye e Mpigi.