Egombolola ye Lubaga bateekateeka okuleeta etteeka erirunganya ku bantu abatunda ebintu ebikadde naddala eby’omunju, ng’omu ku kawefube w’okukendeeza obubbi obukudde ejjembe ensangi zino.
Sipiika we Lubaga Mbaziira Musa agamba nti abantu bali ku bunkenke bwennyini olw’ababbi abatwala buli kimu, nebabiguza abasuubuzi ababibagulako ku bbeeyi layisi,nebabitundira mu maduuka agatunda ebikadde.
Mulimu abatunda entebbe, emmeeza, paasi ezigolola engoye, essefulira, Fridge n’ebirala.
Sipiika Mbaziira agambye nti bataddewo ne kooti ku ggombolola ekkulirwa Damba Kisuze, okuwozesa emisango egitwalibwa okuba emitonotono.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred