Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago n’olukiikolwe baddukidde wa kaliisoliiso wa Government Betty Kamya, bagala akole okunoonyereza ku kitongole kya KCCA okukwata ababbi ababulankanya ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Lukwago agamba nti ensimbi za KCCA nnyingi ezibula mu ngeri y’amankwetu.
Agambye nti ensimbi zino zisinga kubulira mu ‘contracts’ ez’ensimbi empitirivu eziwebwa kampuni ez’enjawulo, naddala ezikola enguudo, bannyinizo nebagabana ensimbi n’abakulu mu KCCA.
Lukwago era agambye nti waliwo n’eddwaliro lya KCCA eryatundibwa gyebuvuddeko,ensimbi ezavaamu tezimanyiddwako mayitire.
Olukiiko lwa KCCA olukulemberwa lord mayor lubadde n’ensisinkano ku City Hall, Lukwago n’agamba nti mu kitongole kya KCCA mulimu ebintu bingi ebikolebwayo nga tewali abagambako, so nga bbo abaludda lw’ebyobufuzi olukuba ku nduulu luweddemu amaanyi nga kati baasigala kukuuma biwandiiko.
Mugeri yemu Lukwago ayagala IGG anoonyereze kubannamateeka b’ekitongole kya KCCA nti nabo bandiba nga bekobaana n’abanyaga sente z’ekitongole.
Bakansala bagambye, nti waliwo n’obubbi obulala obugenda mu maaso mu butale, nti ensimbi ezivaamu tezimanyiddwa kyezikola.
Bagamba nti ekitongole kya KCCA kyekisasulira amazzi, amasanyalaze ne kasasiro mu butale obwenjawulo , so ng’abasuubuzi ababukoleramu babasasuzza ensimbi.
IGG Betty Kamya agambye nti okusaba kwa bakansala ba KCCA yakufunye,era agenda kuteekawo tiimu y’abantu abagenda okunyonyereza ku kitongole kya KCCA.