Lord mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago agambye nti ebizibu ebikosa bannakampala bivudde ku mateeka ag’ekimpatiira agayisibwa, nga tegasoose kunoonyerezebwako.
Lukwago abadde mu lutuula lwa KCCA olwenjawulo olubadde ku City Hall mu Kampala, okwanjula embeera bweyimiridde mu Kibuga Kampala,kati omwaka mulamba kasookeddenga balondebwa nebatandika okuweereza bannakampala.
Olutuula luno olwatuumwa State of Kampala Capital City Affairs address, lwetabiddwamu abakulembeze abenjawulo ku mitendera gyonna mu Kampala.
Lukwago agambye nti Kampala erimu ebyalo 891, emiruka 99 ,na Gombolola 05.
Abantu abasula mu Kampala bali 1,507,080 ,nga ku bano kuliko abakyala 79,4318 abasajja 712,762.
Mulimu amaka agasulwamu 416,803 nga abamu ku bantu bano bakola emirimu egyenjawulo omuli okuvuga Bodaboda ne taxi, ,Obusuubuzi obwalejjalejja n’ebirala .
Lukwago agamba nti wakyaliwo okusomoozebwa okuva eri abamu kubakulu mu Kampala Capital City Authority, abasaawo emisolo egyekimpatira eri Banna Kampala ekintu kyagamba nti kikyamu era kirina okukomezebwa.
Awadde ekyokulabirako ekya ssente emitwalo 60,000 ezijjibwa ku bagoba ba Bodaboda okubakebera emitwe
Lukwago era Ayogedde ku bizimbe ebigwa mu Kampala enkya neGgulo nebitirimbula banna Kampala, nagamba nti biva kubulagajavu bwa Bakozi mu kitongole kya KCCA.
Lukwago era ayagala wabeewo okunoonyereza ku ensimbi ezaakozesebwa okukola oluguudo lwe Lukuli Konge ne Acacia avenue, nti zasaasaanyizibwako ensimbi nkumu.
Agambye nti zakolebwa ku buvujjirizi bwa World bank, wabula nga buli kilometre y’oluguudo yatwala obuwumbi bwa shs 10.
Mu ngeri yeemu Lukwago agambye nti ekibuga kikyalina obuzibu bwa kasasiro, olw’obutaba na bimmotoka bimala okumuyoola.
KCCA erina ebimmotoka 19 byokka, wabula nga kuliko ebiramu 12 ebisigadde byafuuka migangatika.
Wabula Ssenkulu wa KCCA Dorothy Kitaka agambye nti balina enteekateeka ezigula ebimmotoka 10 buli mwaka gwa nsimbi, batandise na guno ogugenda okugwako.
Mu ngeri yeemu Kitaka agambye nti n’enguudo Lord Mayor zayogerako nti zatwala sente nnyingi, agambye nti zaaliko okuliyirira abantu, okukola emyala n’ebirala.
Lord mayor agambye nti kyetaagisa okulekeraawo okuzimba amakolero mu kibuga , ne wofiisi z’ebitongole ebyenjawuli ziggibwemu zitwalibwe Entebbe,kikendeeze ku mugotteko gwémmotooka eziyingira buli lunaku nézifuluma Kampala.
Lukwago era akukkulumidde Government olw’ensimbi entono zeteeka mu Kampala okukola emirimu,nti tezisobola kukuulakulanya kibuga nga government yagaana okwogezza embalirira ya KCCA.
Minister wa Kampala Minsa Kabanda agambye nti ebintu byonna LoRD Mayor byayogeddeko birungi era námusaba okukomya okubiteekamu ebyobufuzi naye batuule wamu bateekereteekere ekibuga.
Bamayor bamagombolola nabo bagambye nti wadde bawezezza omwaka mulamba mu wofiisi kasookanga balondebwa, nti naye sibasanyufu kubanga tebayina buyinza, so nga baakola enteekateeka nnyingi okuweereza abantu babwe.
Ye speaker wa City Hall Zahara Maala Luyirika ne Luyombya Godfrey bagambye nti nabo omwaka gwebamaze mu wofiisi banyigiriziddwa nnyo, kubanga n’omusaala tebakyabasasula.