Enkuba omubadde okubwatuka kw’eggulu ekosezza abatuuze kunkyalo Mbaale-Kinoni mu town council ye Butenga mu district ye Bukomansimbi, ng’ababadde n’ebyuma by’amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba ebisinga bikutte omuliro.
Mpijja Gonzaga abadde n’ekibanda ky’omupiira ensaniya z’amaanyi g’enjuba gyezosoose okukwata omuliro, ebintu byonna biyidde okuli ne pikipiki ebadde eterekeddwamu.
Ennyumba z’abasomesa ebintu byabwe biweddewo,
N’abantu abalala ababadde n’ensaniya z’amaanyi g’enjuba ziyidde, saalo essimu ne radio
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior