Laddu ekubye abayizi b’e ssomero lya Maaya Primary School erisangibwa mu gombolola ye Lubimbiri mu district y’e Mubende, omuyizi omu afiiriddewo ate abalala 13 bakoseddwa byansusso.
Omwana afudde ye Kaluhanga Joshua abadde asoma P.6.
Abayizi abalala 13 baddusiddwa mu ddwaliro lya Mubende Regional Referral Hospital okufuna obujanjabi, wabula ng’abasatu bali mu mbeera mbi.
Kuliko Tundida Rosemary, Kamukama Mettu n’omulala ategeerekeseeko erinnya kimu erya
Ronald.
Omukulu w’essomero lya Maaya Primary School Mugisha Patrick agambye nti laddu ekubye kizimbe ekiriko abibiina bibiri ekya P.6 ne P.5, wakati mu nkuba ebadde etonnya.
Abasomesa mu kiseera ekyo babadde mu lukiiko lwabwe kwekuwulira abayizi nga abalala nga bawoggana nva bwebadduka mu nkuba ebadde efudemba, abasomesa bagenze okutuuka mu bibiina ng’abayizi abamu bagudde kwekubayoolayoola, nebabaddusa mu ddwaliro, wabula Kaluhanga Joshua abadde amaze okufa.
Abasomesa bawanjagidde government okukwasizaako amasomero gonna okufuna okuteeka obuuma obukwata laddu.
Bisakiddwa: Ssebuufu Baanabakintu Kironde