Bya Issah Kimbugwe
Club ya Kyetume FC egucangira mu liigi y’ekibinja eky’okubiri ekya FUFA Big League eddukidde mu kibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA newawabira club ya Proline, egirumiriza okuzanyisa abazannyi abatakirizibwa mu mateeka.
Kyetume erumiriza club ya Proline nti yazanyisa abazannyi 3 abaali tebakkirizibwa, bwe baali battunka mu liigi ku lw’okuna oluyise.
Omupiira ogwo gwali mu kisaawe kye Nakisunga mu district ye Mukono.
Proline yaguwangula ku goolo 3-2.
Abazannyi Kyetume berumiriza kuliko Ibrahim Sendi, Brian Mato ne Noordin Bunjo.
Kyetume Fc egamba nti baali abazannyi abo baali bawezezza kaadi kaadi 3 buli omu eza kyenvu, kyokka nga tebaliba mupiira gwonna gwebaawumukamu ng’a amateeka bwe galagira.
Embeera eyo yeemu gyebuvuddeko mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, FUFA yagabira club ya Vipers obubonero 3 ne goolo 3, olwa tiimu ya Tooro United bwe baali battunka mu liigi okukozesa omuzannyi eyalina kaadi 3 eza kyenvu.