Kyengera town council kyadaaki ekoze oluguudo oluva e Kyengera- Mugongo okutuuka e Kinaawa.
Oluguudo luno oluwezaako kilometre 8 lutandikira ku ssundiro ly’amafuta erya Total e Kyengera okutuuka e Kiwaana.
Oluguudo luno lubadde lumaze ebbanga nga terukolebwa, era mayor wa Kyengera Town Council Mathius Malukagga bweyali yakalondebwa mu 2021 yayisaamu tractor, wabula nebiwulirwa nti district ye Wakiso ye yali eruvunaanyizibwako.
Mayor Walukagga mu kwogerako ne Cbs agambye nti yatuukirira abakulu mu district nebamutegeeza ebikwata ku luguudo luno, nga Kyengera Town council yeruvunaanyizibwako.
Agambye nti basazeewo okukozesa ku mutemwa gwa town council ogwa Local revenue okukola oluguudo luno nga baluyiwako ettaka lya marrum, ng’agamba nti lubadde lusukkiridde ebinnya.
Agamba nti oluvannyuma lw’okukola oluguudo luno, lugenda kuyambako okukendeeza akalippagano k’ebidduka okuva e Nateete okutuuka e Kyengera.
Abagoba b’ebidduka kati bajjakuba basobola okusalirako e Nateete ku bitaala, nebaleega ku luguudo lw’e Nakawuka okutuuka e Kinaawa olwo nebaviirayo ku Total petrol station e Kyengera.
Walukagga agamba nti nga Kyengera Town council batadde essira kukukola enguudo zebalinako obusobozi, era nti oluva ku luno olwa Kyengera Mugongo Kinaawa, baddako lwa Kyengera okugenda e Nabaziz#