President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine kwatiddwa ab’ebyokwerinda bw’abadde yakatuuka ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebbe ng’ava SouthAfrica. Kyagulanyi atuuse ku kisaawe ky’Entebbe ku ssaawa 4 ezokumakya n’eddakiika 20 (10:20am). Abamu ku bantu ababadde ku nnyonyi Kyagulanyi kwajidde, bategeezezza nti Kyagulanyi bamuggye ku nnyonyi nga yakasimba nebamuteeka mu mmotoka ebadde esimbye ku kisaawe nebamubuzaawo. Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti Kyagulanyi ab’ebyokwerinda bamuvuze bamutwala mu maka ge agasangibwa e Magere Kasangati mu Kyadondo gy’atuusiddwa ku ssaaza ttaano n’eddakiika 20 (11:20am). BannaNUP babadde baateeseteese okumwaniriza mun kitiibwa bamuwerekere okutuuka mu maka ge e Magere Kasangati. Wabula police yabalabudde obuteetantala kugenda mu maaso n’enteekateeka ezo zeyagambye nti zibadde zakutaataaganya emirimu gy’abantu abakolera ku luguudo oluva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere. Waliwo n’abalala ku bannaNUP abakulembeddwamu mayor we Kasangati Ssempebwa bakwatiddwa nga boolekera Entebbe. Ssaabawandiisi wa NUP David Louis Lubongoya agaaniddwa okuyisa Kitubulu Katabi e Ntebbe. Kigambibwa nti waliwo ne bannamawulire abasoba mu 10 abagombeddwamu obwala, ebintu byabwe byebakozesa emirimu gyabwe byonooneddwa nga n’abamu bakubiddwa endambaggere. Enfunda eziwera ab’ebyokwerinda babadde bakwata abali ku ludda oluvuganya government, nga baliko engendo z’ebweru wegwanga zebavaako. Mu October wa 2026, January ne April 2021 embeera yeemu yeyakolebwa ku munna FDC Rtd Col.Dr.Kiiza Besigye, ab’ebyokwerinda baamukwatiranga ku kisaawe Entebbe nga yaka mu nnyonyi nebamubuzaawo okumutuusa mu maka ge e Kasangati.#