President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine akungubagidde eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah.
Mu biseera Kyagulanyi weyabeerera omubaka wa Kyadondo East mu parliament eyekkumi, omugenzi Jacob Oulanyah yali akyali mumyuka wa sipiika.
Kyagulanyi agenze ku kyalo Lalogi district ye Omoro mu maka ga muzeeyi Nathan L’okori kitaawe w’omugenzi Jacob Oulanyah n’amusaasira olw’okufiirwa omwana.
Aganzise ekimuli ku ntaana ya Oulanyah wadde ng’abasirikale abagikuuma basoose kumugaana,wabula oluvannyuma bamulese nakola ekimututteyo.
Awerekeddwako omumyuka we mu bukiika kkono bwa Uganda Dr.Lina Zedriga, eyaliko president wa UPC Amb. Olala Otunu,omubaka wa Clerk south Gilbert Oulanyah, n’abalala.
Kyagulanyi agambye nti wadde babadde tebakkiriziganya mu by’obufuzi ne Oulanyah,nti naye babadde bamukwano.
Jacob Oulanyah yafa nga 20 march 2022 n’aziikibwa nga 08 April,2022, wabula olunaku kweyaziikibwako Kyagulanyi yali Geneva gyeyali agenze mu lukungaana olukwata ku ddembe ly’obuntu.
Asoose mu mmisa y’okunyenya matabi mu Kkereziya ya Holy Rosary e Gulu.
Ano gyayambalidde bannabyabufuzi abagezaako okusiga obukyayi n’okusosolagana mu Bannayuganda.
Kyagulanyi agambye nti ebizibu bya Bannayuganda bonna bye bimu awatali kwawula mu mawanga.