President w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi ssentamu aggyeyo omusango gweyali yawaaba mu kakiiko ke ddembe ly’obuntu, ng’agamba nti akakiiko kalina kyekubiira munkola yaako ey’emirimu.
Kyagulanyi ssentamu yatwala okwemulugunya mu kakiiko kano mu mwaka gwa 2018, ng’avunaana ab’ebyokwerinda okumugaana okuyimba n’okukwata abantu be nga n’okutuusa kati tasobola kuyimba mu Uganda.
Wabaddewo okuwanyisiganya ebisongovu wakati wa Ssentebe w’akakiiko ke ddembe ly’obuntu Mariam Wangadya n’omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu,Kyagulanyi bw’alumirizza ssentebe w’akakiiko kano nti amulabye enfunda eziwera ng’ayogera abalaatira mu nsonga z’abantu babwe abawambibwa.
Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo wakati w’abakulu bombiriri, Ssentebe w’akakiiko ke ddembe ly’obuntu Mariam Wangadya atuuse n’okuyita abebyokwerinda bakwate Kyagulanyi nti olw’okuwayiriza akakiiko kano nti tekeetengeredde kakolera ku ntoli za president Museven.
Kyagulanyi ssentamu oluvanyuma lw’okuva mu kakiiko kano ategezezza banna mawulire nti ekibatutte mu kakiiko kano kwekuggyayo omusango gwabwe gwebatwalayo nga bemulugunya ku nsonga y’okumuyimiriza okuyimba, oluvannyuma lw’okukizuula nti omusango gumaze abbanga erisoba mu 5 era nti abadde takyasuubirayo bwenkanya.
Akakiiko kano kageda kuwuliriza okwemulugunya kwa mirundi 16, era nga kugenda kumala ennaku satu.
President w’ekisinde kya People’s Transition for Change Rtd.Col.Dr.Kiiza Besigye naye yetabye mu lutuula lw’akakiiko, mu musango naye gweyemulugunyamu olw’okulinnyirirwa eddembe lye.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif