Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye abasoga okwetaba mu nkyuukakyuuka gyebetaaga ymu bukulembeze bw’e ggwanga, nga beewala abakulembeze ababacamuukiriza n’ebisuubizo ebitaliiyo.
Kyagulanyi abadde ku mwalo gwe Bwondha e Mayuge ,nategeeza nti Uganda ekyalina essuubi ery’okukulaakulana okufuuka eggwanga eryegoombesa.
Ssentamu agambye nti kiruma okulaba nga Busoga eyali amakula mu by’amakolero, eby’obulimi n’obuvubi, kati bingi byasaanawo, Abasoga nebasigala kusabiriza okufuna kyebalya.
Kyagulanyi agambye nti bakugenda mu maaso n’okutalaaga eggwanga nga bakunga n’okuggulawo zi yafeesi z’ekibiina, n’okuggumiza obuwagizi bwabwe.
NUP eri mu wiiki ya kubbiri ng’etalaaga eggwanga okunnyikiza emirandira gy’ekibiina, era e Mayuge wakwatiridde nnamungi w’omuntu okwaniruza president wa NUP, era yonna gyebayise bavuddeyo mu mirembe awatali kukugirwa babyakwerinda.
Oluvudde e Mayuge wakwolekera Busia ne Mbale.#