President w’ekibiina ky’obufuzi ki National Unity Platform NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu akomekkereza okulambula ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo, ekitundu ekisooka eky’enteekateeka eno.
Akukomekkerezza mu kisaawe kya Onduparaka Play Ground mu kibuga Arua.
Kyagulanyi Ssentamu n’abakulembeze.ba NUP abalala bamaze wiiki 2 nga batalaaga ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuzuukusa bannakibiina n’okuggulawo wofiisi zabwe.
Olugendo luno yalutandikira mu kibuga Mbarara, Kabale,Fortportal,Mayuge,Busia,Mbale,Lira,Luweero,Hoima ne Arua.
Enkumi n’enkumi z’abantu zibadde zeyiwa kunkungaana zakubye, n’abamu okumulindirira ku makubo gy’abadde ayita.
Kyagulanyi olukomekkereza ekitundu kino, police newera mbagirawo enkungaana za NUP endala, ng’egamba nti balemereddwa okugoberera amateeka, bataataaganya entambula z’ebidduka, omujjuzo gw’abantu abetaba ku nkungaana zino bavuddeko obubenje, okwonoona ebintu n’ensonga endala.#