Unit z’omusaayi emitwalo 42,218 zezigabiddwa banna Kyaddkndo mu nnaku 8 bukyanga enteekateeaka eno etongozewa obwa Kabaka bwa Buganda.
Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation.
Yetabiddwamu abasirikale,abavuzi ba Bodaboda, aba taxi, enzikiriza ez’enjawulo, n’abantu bonna okuva mu magombolola agakola essaza Kaddondo.
Bwabadde aggalawo enteekateeka eno Ssaabawolereza w’obwakabaka era minisita wa government ez’ebitudu Ow’ek. Christopher Bwanika asiimye abantu bonna abajjumbidde okutaasa omulamu bw’abalala nga benyigira mu kugaba omusaayi.
Ow’ek. Bwanika era asabye government okwongera ensimbi ezimala mu by’obulamu, okumalawo oobulippo abasawo mwebayita naddala ebbula ly’ebikozesebwa.
Era asabye abasawo okukomya okutunda omusaayi mu ggwanga kubanga kimalamu abagabi b’omusaayi amaanyi.
Amyuka Kaggo ow’okubiri Ow’ek. Ronald Bakulumpagi asiimye banna Kyaddondo okulaga obujjumbize mu nsonga z’obwakabaka zonna
Atwala eby’obulamu mu ssaza Kyaddondo Dr. Fiona Kalinda agambye nti omusaayi gugabiddwa mu bifo ebisusse mu 400.
Bisakiddwa: Nakato Janefer