Abayizi 1463 abaali baasaba okwegatta ku bbanguliro lya bannamateeka erya Law Development Centre bebaali baalekebwa ebbali, nga ligamba nti abayizi bangi ate nga teririna nsimbi.
Mu August w’omwaka guno 2024 ettendekero lino lyalangirira nti ku bayizi 2723 abaali baasaba lyali lyakutwalako abayizi 1260 bokka mu lusoma lw’omwaka 2024/2025, 1643 nebafikkira.
Embeera eno eze evaako abayizi abo okwekubira enduulu, mu parliament nga n’abamu baddukira mu kkooti okuwawabira ebbanguliro lino.
Mu lutuula lwa parliament eyakubiriziddwa omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa, Ssaabawolereza wa government yalagiddwa okubaako kyannonyola ku mbeera eno, era naasuubiza nti egenda kukolebwako.
Ssaabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka amangu ddala yayise ensisinkano eyabakwatibwako ensonga eno okuginogera eddagala, kwekubategeeza nti government yafunye ensimbi zegenda okuwa Law development center okusomesa abayizi bonna abaasaba.
Mu kiwandiiko kya Ssaabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka eri president wabannamateeka mu ggwanga, agambye nti olusoma lw’abayizi abaali baafikkira lwakutandika mu January w’omwaka ogujja 2025.
Mu nteekateeka eno ebbanguliro lino erya Law development Center liwandiikidde abayizi bonna abaali basaamu okusaba kwabwe okwegatta ku bbanguliro lino wabula nebataweebwa mukisa, era nebalagirwa okugenda bafune ebbaluwa zabwe ezibakkiriza okufuna ebifo.
Bstegeezeddwa nti olukiiko olufuga ebbanguliro lino lukkiriza okuwandiisa abayizi abo bonna 1643 batandiike okusoma mu January,2025 oluvannyuma lwa government okukkiriza okuwaayo ensimbi ezitambuza emirimu.
Uganda erimu amatendekero 14, agakkirizibwa okusomesa amateeka, nga kino kiviiriddeko, omuwendo gw’abayizi abasaba okwegatta ku bbanguliro lyabannamatteeka erya Law development Center okweyongera buli mwaka, songa ebbanguliro lino teririna busobozi okutwaala omuwendo guno gwonna.