Ekitongole kya Korea Foundation for International Health KOFIH, kiwaddeyo entambula y’obugaali ne pikipiki okusitula eby’obulamu mu bitundu bye Buddu.
Ebidduka bino bitongozeddwa Omuteesiteesi omukulu mu minstry y’ebyobulamu Dr Diana Atwine ku kitebe ky’e Ssazza Buddu e Masaka.
Bigendereddwamu okuyambako abasawo b’okubyalo ba VHT okukola emirimu gyabwe mu district okuli Masaka ne Bukomansimbi.
Atwine agambye nti government ekozesa sente nnyingi okujanjaba abantu abalwadde endwadde ezisobola okwewalibwa, nalagira abavunaanyizibwa ku by’obulamu essira okulissa kukusomesa abantu okwewala endwadde.
Dr. Diana Atwine era ategezeza,nti bakuddukira mu parliament ebongere ensimbi bannyikize eky’okugema endwadde ezisobola okwewalibwa nga bayise mukugema nadala okugema amabujje agaakazalibwa.
Ekitongole ekyo ekya KOFIH kyakuwa baco-odinator ba VHT buli omu piki piki ate buli VHT awebwe egaali mu district zonna ekitongole kya KOFIH gyekigaba obuyambi.
Mukutongoza enteekateeka eno, pikipiki 30 n’obugaali 200 byebireeteddwa.
Dr Diana Atwine alabudde abawereddwa ebintu ebyo,okubikozesa obulungi okwongera okusikiriza abagabi bobuyambi okubawa ebirala.
Ssentebe wa district ye Bukomansimbi Fred Nyenje Kayiira,CAO Ruhweza Peter,RDC wa Masaka Teopisita Lule Ssenkungu,akulira ebyobulamu e Bukomansimbi Dr Kato Alfred Tumusiime,bagambye nti ebintu nga bino byakuyamba okwongera okusitula eby’obulamu n’okuwewula ku mirimu.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior