Abenganda zómubaka wa Makindye West mu Parliament Allan Ssewannyana, bawanjagidde bonna abakwatibwako okukkiriza omuntu wabwe atwalibwe mu malwaliro agasinga ku ddwaliro lye Mulago okusobola okufuna obujjanjabi obusingawo.
Omubaka Allan Ssewannyana yafuna ekirwadde ekyamugwira mu Kkomero e Kigo, n’atwalibwa mu ddwaliro lye Kkomera e Luzira okufuna obujjanjabi, nga eno abadde yakamalayo wiiki 2.
Ku lwokutaano lwa wiiki ewedde ekitongole kya Makomera kyawalirizibwa okuggya Omubaka Ssewannyana mu dwaliro lye kkomera e Luzira natwalibwa mu dwaliro e Mulago nga ekirwadde kyeyongedde nga nómukka abaka mubake.
Abenganda zómubaka Sseannyana nga bakulembeddwamu Mukyala we Namata Lydia ategezezza nti baafuna okumanyisibwa okuva mu bakulira amakomera okubategeeza nti omuntu wabwe atwaliddwa e Mulago, kyokka baagenda okumutuukako nga embeera gyalimu mbi nnyo.
Namata era ategezezza nti mukaseera kano Omubaka yetaaga okufuna obujjanjabi obusinga ku bwe Mulago kubanga ekirwadde ekyatandikidde mu kifuba kyandiba nga kyamaanyi ddala.
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera mu ggwanga Frank Baine agambye nti ekitongole ky’amakomera tekirina buyinza kutwala omusibe mu malwaliro agatali ga government okutuusa nga bafunye ekiragiro kya kooti, era gyebagenda okumutwala esalewo.
Bannamateeka b’omubaka ono Allan Ssewannyana ne Muhammad Ssegirinya nga bakulembeddwamu Ssalongo Erias Lukwago bagenze mu kooti e Masaka, nebasaba kooti ebakkirize okweyimirirwa basobole okugenda mu malwaliro agasingawo bafune obujanjabi.
Bisakiddwa: Ssebuliba William