Bya Ssebuliba William
Kooti y’amagye ga UPDF etuula e Moroto etandise okuwulira emisango egivunanibwa aba Turkana bannansi ba Kenya 8, abaakwatibwa mu bikwekweto by’okufuuza abanyaga ente n’emmundu mu bitundu bye Kalamoja.
Bavunaanibwa emisango egyenjawulo omuli egyóbubbi, okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka, okutta nókutuusa obulabe ku bantu,okuyingira Uganda mu ngeri emenya amateeka ne misango emirala.
Emisango egibavunaanibwa bajikkiriza nebasaba bawebwe ekibonerezo ekisaamusaamu,basobole okuddayo okwaboobwe balabirire amaka gabwe.
Abavunaanibwa bazze bakwatibwa mu bikwekweto eby’enjawulo ebikolebwa amagye ga UPDF, ebigenderera okuggya emmundu ku banyazi b’ente mu bitundu bye Karamojja, okuzza emirembe mu kitundu kino.
Wiiki eno amagye ga UPDF gaatandika okusunsula abantu bonna abazze bakwatibwamu mu bikwekweto,okuli Abakaramoja, naabaTurkana okuva mu Kenya.
Ssentebe wa kooti y’amagye etuula e Moroto Col Francis Kateraho ategezezza nti ne banna Uganda bangi mu bitundu bye Karamoja abazze bakwatibwa mu bikwekweto bino, era nabo essaawa yonna baakuleetebwa mu kooti eno bavunaanibwe.
Abantu abawerako battiddwa abakwata mmundu abanyaga ente, nga negyebuvuddeko kigambibwa bebatta abakozi ba ministry y’ebyobugagga eby’omuttaka 2 n’abasirikale 3 abaali babakuuma nga bakola emirimu gyabwe.
Mu kiseera kino waliwo n’abantu abamu abaavaayo kyeyagalire nebawaayo emmundu zebabadde babbisa eri UPDF era nebawebwa ekisonyiwo.
Mu ngeri yeemu,Omubaka omukyala owa district ye Bukwo Evelyn Chemutai alumiriza abasirikale b’ekitongole ekikuuma ebisolo byomunsiko ki Uganda Wildlife Authority okukolagana n’ababbi b’ente nebabba ente zabantu mu bitundu bye Sebei.
Omubaka Chemutai Evelyn asinzidde mu lutuula lwa parliament ategezeeza nti ente zino bwezibbibwa ziyisibwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National park ewali obukuumi obw’amaanyi obw’ekitongole kyebisolo byomunsiko.
Agamba nti buli abantu lwebagezaako okulondoola ente zabwe battibwa abakuumi b’ebisolo byomunsiko.
Omubaka ayagala abakozi bekitongole kya UWA bakangavvulwe, abantu babaddize ente zaabwe
Omumyuka owokusatu owa ssaabaminisita w’eggwanga Hajjat Rukia Nakadama, agambye nti ensonga eno yetaaga okusooka okwongera okunoonyerezebwako.