
Emisango 43 gyegigenda okutandika okuwulirwa olunaku lwa leero mu Kkooti etaputa ssemateeka.
Emisango gino gyaloopwa okuva mu mwaka gwa 2017 okutuusa 2022, ng’abaagiroopa bagala kubataputira ensonga ezenjawulo.
Abamu ku balamuzi abagenda okuwulira emisango gino kuliko; amyuka Sabalamuzi Richard Buteera, Stephen Musota, Irene Mulyagonja, Muzamiru Kibedi, Monica Mugenyi ne Catherine Bamugemereire.
Egimu ku misango egigenda okuwulirwa kwekuli ogw’omubaka wa municipaali ye Mityana Francis Zaake, mwawakanyiza ekya parliament okumugoba ku bwa Commissioner ng’emulanga okukozesa omutimbagano nalengezza sipiika wa parliament Anita Among.
Omusango omulala gwe gw’eyali omulamuzi wa kkooti ensukkulumu Prof. George Wilson Kanyeihamba awakanyizza enteekateeka ya president Yoweri Tibuhaburwa Museveni okukola ennongosereza okugaana abavunaanibwa emisango gya nnaggomola okweyimirirwa.
Omusango omulala gwegwaloopwa ebibiina byobwannakyewa nga biwakanya obumu ku buwaayiro mu tteeka lya Computer Misuse Act, obukugira omuntu okwogera ku mulala, nga bagamba nti bumenya akawaayiro ka semateeka akawa ebbeetu ly’okwogera kwotadde emisango emirala mingi.