Government eya wakati eyagala Obwakabaka bwa Buganda bugikwasizeeko mu kuzzaawo kooti z’ennono n’Obuwangwa, okugonjoola enkaayana ezimala obudde obuwanvu mu kooti z’Amateeka.
Mu nkola eno government eyagala kooti ezisokerwaako ku byaalo omuli Ebitaawuluzi ne Kooti ya Kisekwa ,Embuga n’ebiringa ebyo zikolere wamu okutuusa obwenkanya n’Okutabagana mu bannansi, ku lw’Obulungi bwa Uganda eyawamu.
Bwabadde asisinkanye ssaabalamuzi wa Uganda Alphonse Owinyi Dolo ku kitebe kya kooti ekikulu mu Kampala, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti enkolagana wakati w’Obwakabaka ne government eya wakati yakuyamba nnyo okussa amaanyi mu kkooti z’Ennono yakutumbula Obumu n’enkulaakulana mu Bwakabaka ne mu Uganda yonna.
Katikkiro mungeri yeemu asabye banna Uganda okussa obwesigwa mu kooti eziba zireeteddwa mu kitundu,zagambye nti zaakukendeeza ku bungi bw’emisango egitwala obudde obuwanvu mu kooti awatali kuwulirwa , ekiremesa Obwenkanya okutuuka ku bantu.
Ssaabalamuzi Alphonse Owinnyi Dollo, agambye nti Uganda yakufuna ku buweerero mu kisaawe ky’Amateeka n’Obwenkanya, ssinga enkolagana eno essibwaamu ekitiibwa.
Bisakiddwa: Kato Denis