Ekiwayi kya FDC ekikulemberwa ssentebe w’e kibiina Ambasador Wasswa Biriggwa bakyakalambidde nti bakugenda mu maaso n’okutuuza Ttabamiruka wabwe ku Tuesday nga 19 September,wadde kooti ebayimirizza.
Gyebuvudeko ba member ba FDC okuli Arafat Ntale Mwanja , Jamal Wante ne Marlick Ssaazi badukira mu kooti ensukulumu nebawawabira abakulu mukibiina okuli president waakyo Eng Patrick Amuriat Oboi , Ssabawandiisi Nathan Nandala Mafabi, nga bagala esazeemu Tabamiruka eyetegekebwa Ssentebe Ambassador Wasswa Biriggwa nga bagamba okutegeka olukungaana luno kikolebwa mu bumenyi bw’amateeka .
Mumpaaba yaabwe bategeeza nti abakulu abakwatibwako mukibiina kya FDC baali tebeebuziddwako mu kutegeka Ttabamiruka era yali agendereddwamu okuswaza n’okwawulayawula mu ba memba.

Kooti ng’ekubirizibwa Omulamuzi Esta Nambayo eyimirizza tabamirukawa wa FDC okutuusa nga’omusango ogwawabwa banakibiina bano guwuliddwa
Omulamuzi Esta Nambayo era alagidde abawabi okuteekamu empoza yabwe nga 22 september,2023 ne Patrick Amariat ne banne batwaleeyo okwewozako kwabwe nga 29 september noluvanyuma bonna baddeyo mu Kooti nga 4 October,2023.
Wabula oluvanyuma lwensala eno bana FDC nga bakulembeddwa Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Elias Lukwago n’Omubaka wa Kiira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda bakukulumidde Kooti olw’ensala eno, nebagamba nti bakugenda mu maaso n’olukungaana lwabwe balutambuze nga bwebanaaba balabye.
Ssentebbe wa FDC atwala ebitundu bya Buganda Lordmayor Erias Lukwaago akukulumidde kooti olwobutawa mukisa kwewozaako nga babadde balina ensonga kwebesigamye okutegekeka Ttabamiruka.
Omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju ategeezza nti abantu abaatwala Omusango mu kooti okwemulugunya ku Ttabamiruka baali mukobaane ne ssabawandiisi we kibiina Nandala Mafabi era kyakolebwa mubugenderevu.
Wabula amyuma Omwogezi wa FDC John Kikonyogo ali ku ludda lwa Nathan Nandala Mafaabi ne Amuriat Oboi abasekeredde nagamba nti tasubiira lukungaana luno kubeerwayo kubanga abakulu mu FDC tebalumanyi.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius ne Betty Zziwa