Kooti etaputa ssemateeka ejuunguludde ekyasalibwawo parliament okugoba omubaka wa Mityana municipality ku kifo kya commissioner wa parliament.
Ensala ya kooti eraze nti waliwo amateeka agaaziimuulwa parliament bweyali egoba Zzaake.
Kooti erambise nti mwalimu okupapirira, Ensonga y’okuteesa ku Zzaake bweyassibwa ku lukalala lw’e bintu ebyali birina okuteesebwako (order paper), so nga mukusooka yali tesoose kussibwako, ate nga n’omuwendo gw’ababaka ogw’essalira abaayisa ekiteeso ekyo gwali teguwera.
Abalamuzi ba kkooti etaputa semateeka 5 nga bakulemberwamu Irene Mulyagonja balagidde nti Zzaake azzzibwe kubwa Commissioner bwa palamenti, ne sipiika wa parliament Anita Annet Among amuliyirire ekitundu ky’ensimbi zasaasanyizza mu musango guno.
Zaake yagobwa kubwa Commissioner bwa parliament nga 10th March, 2022, Ababaka baamulanga ogw’okusiwuuka empisa nalengezza sipiika wa parliament Anita Among nti ng’ayita ku mutimbagano.
Oluvannyuma lw’ensala ya kooti, Zaake asannyukidde ekya kkooti okusala amazima, era nátegeeza nti agenda kutwala sipiika mu kakiiko ka parliament akakwasisa empisa kamukangavvule olwokumenyanga amateeka entakera.
Bannakibiina kya Nup okuli Sabawandiisi w’ekibiina ki NUP David Lewis Lubongoya, omubaka wa mityana Joyce Bagala ne Julius Katongole batabukidde parliament olw’okulemwa okugoberera amateeka nti ng’emala gasalawo ebintu mu ngeri y’ekiboggwe.#