Abalamuzi bataano aba kooti etaputa ssemateeka w’eggwanga nga bakulembeddwamu amyuka Ssaabalamuzi Richard Buteera bagaanye okusazaamu etteeka lya Uganda erirambika ku nsonga y’ebisiyaga.
Etteeka lino lyayisibwa parliament ya Uganda mu mwaka 2023.
Abalamuzi bagamba nti abaawaaba omusango balemereddwa okuleeta obujulizi obulaga nti obuwaayiro bw’etteeka lino obuwerako bukontana ne ssemateeka w’eggwanga.
Abawaabi nga bakulembeddwamu omubaka wa West Budaama Fox Odoi, abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu, Prof.Sylivia Tamale omusomesa e Makerere University, Pastor James Lubega Banda, bamba nti etteeka erirwanyisa ebisiyaga liggyako abantu eddembe lyabwe ery’okufuna obujanjabi, eddembe ly’okukuungana n’eryokweyogerera n’ebirala.
Wabula abalamuzi bagaanye okukkiriziganya nabo nebategeeza nti etteeka lino engeri gyerwayisibwamu n’obuwaayiro bwonna obulimu byagoberera amateeka amalala.
Abalamuzi bagambye nti etteeka lino lyagendererwamu okukuuma abaana abato n’abantu abateesobola, nga n’olwekyo liteekeddw okusigalawo okuggyayo ebigendererwa ebyaliyisibwa.
Wabula abalamuzi banokoddeyo akawaayiro namba 3, 9 ne 11, nti bwokka bwebulina okusazibwamu nti engeri gyebwakolebwamu esobola okulemesa abenyigira mu bikolwa eby’omukwano ogw’ebikukujju okufuna obujanjabi n’okukosa eby’ensula yabwe.
Pastor Matin Ssempa eyegatta ku ssaabawolereza wa government mukuwolereza etteeka lino asanyukidde ensala ya kooti ya Ssemateeka n’agamba nti ebisiyaga tebirina kuweebwa bbeetu mu Uganda, olw’okukuuma empisa, obuwangwa n’ennono z’omiddugavu.
Bisakiddwa: Betty Zziwa