Kkooti enkulu ewozesa abalyake nabakenuzi e Kololo etandika leero 04 July,2023 okuwulira emisango gy’okubulankanya amabaati g’Abakalamoja egivunaanibwa Minister omubeezi ow’ensonga ze Karamoja ngera ye mubaka omukyala owa District ye Buduuda Agnes Nanduttu.
Ekitongole Kya ssaabawaabi w’emisango government kisuubirwa okuleeta abajulizi 10 abagenda okulumiriza Nanduttu ku misango gyokwezibika amabaati g’abakalamoja agawerera ddala 2000.
Omulamuzi wa kkooti eno Jane Kajuga y’agenda okuwulira omusango guno.
Nga 19th April, 2023 Nanduttu yasindikibwa ku meere e Luzira gyeyabeera okumala ebbanga erikunukkiriza mu wiiki 3 ate oluvannyuma nayimbulwa ku kakalu ka kkooti ku misango gino.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, wakati wa June omwaka oguwedde ne February omwaka guno Minisita ngakozesa ekifo kye yezibika amabaati ago ngakimanyi bulungi nti gaali g’abaweggyere be Karamojja.
Bisakiddwa:Mpagi Recoboam