Kooti ye Iganga egobye omukiise w’abavubuka ku lukiiko lwa Iganga municipality Mbeiza Eric ku bukulembeze buno, lwa kugingirira byeyakozesa okumulonda.
Omulamuzi Dan Apebbo yaagobye muna NRM Mbeiza mu kifo kyamazeemu emyaka ebiri, oluvanyuma lwokukizuula nga yakyusakyusa ebiwandiiko byobuyigirize bwe, naakyusa n’emyaka gy’okundagamuntu ye nagikendeeza asobole okwesimbawo ng’omuvubuka.
Apebbo agambye nti muna FDC Sharif Hishaka eyekubira enduulu eranga yali mulwokano ye muntu omutuufu, alina okudda mu kifo ekyo.
Alagidde Hishaka alayizibwe mu nnaku 14 atandikirewo okuweereza abavubuka be Iganga.
Eric Mudumbuli munamateeka ekiikiridde Mbeiza tanannyonyola muntu we kyagenda kuzaako, so nga Abed Mudiobole akiikiridde Hishaka mu kooti ebadde ekubyeeko obugule, agambye nti kati bbo entegeka zebazaako kwekulaba ng’omuntuwe alayizibwa nga kooti bwesazeewo.
Bisakiddwa: Kirabira Fred