Omulamuzi Benard Namanya owa Kkooti enkulu mu Kampala asazizzaamu okulondebwa kwa kkanso Elias Luyimbaazi Nalukoola ku ky’omubaka wa Kawempe North.
Kooti eragidde akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda okuggya mu bwangu.
Omulamuzi Namanya yeesigamye ku nsonga okuli nti abalonzi abasoba mu 16,640 okwali n’omuwaabi yennyini munna NRM Faridah Nambi baalemesebwa okulonda kubanga akakiiko k’ebyokulonda kaalemererwa okuzza ebyava mu bifo 14.
Omulamuzi agambye nti yafunye obujulizi nti Kkanso Nalukoola yennyini ku lunaku lw’okulonda lwennyini yakola kakuye ekikontana n’amateeka.
Munnamateeka Luyimbaazi Elias Nalukoola yalangirirwa ku buwanguzi bw’omubaka wa Parlament owa Kawempe North nga 13 March 2025 oluvannyuma lw’okuddamu okulonda okujjuza ekifo ekyo ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegirinya.
Omulamuzi ategeezezza nti tekiba kyabwenkanya kuleka balonzi bamu bbali, nga n’olwekyo obwenkanya mu nteekateeka y’okulonda omukiise waabwe bwetaagisa.
Aĵbakulu mu kibiina kya National Unity Platform tebannabaako kyebagamba oba nga banaajulira ku nsala y’omulamuzi esudde omuntu waabwe.
Okulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Parliament owa Kawempe kwajjula emivuyo omwali n’okukuba bannamawulire nebafuna n’embali n’abamu nebatuuka n’okusuulawo emirimu nebayimiriza eby’okusaka amawulire g’akalulu.
Nalukoola akalulu kano yakawangula n’obululu 17,939, ate Nambi Faridah Kigongo eyakwata eky’okubiri era nga yeyawaaba yafuna 9,058.#