Kooti enkulu etaawulula enkayaana mu maka esazeewo nti eyali omulamuzi wa kooti ensukkulumu Stella Arach Amoko aziikibwe ku butaka gy’azaalwa mu district ye Nebbi.
Omulamuzi yafa wiiki emu n’ekitundu eyiseewo, wabula wabaddewo okusika omugwa ku kifo ky’alina okuziikibwa.
Bba w’omugenzi nga ye Ambasador Amoko yali ayagala aziikibwe ewuwe mu district ye Adjumani, wabula abaana b’omugenzi nebagaana nga bagala aziikibwe ewabwe e Nebbi nti gyeyal4ka alaamye mu bigambo.
Kooti yalagira enjuuyi zombi ziteese, era waaliwo n’ekiteeso ky’okumuziika wakiri mu limbo ya klezia y’essaza lye Arua, wabula ab’oluganda lw’omugenzi era nebagaana.
Kati kooti esazeewo nti aziikibwe ku butaka bwe e Nebbi.#