Kkooti etaputa semateeka essaawa yonna esuubirwa okuwa ensala mu musango ogwaloopwa abalimi n’abasuubuzi b’amayirungi mwebaagalira okutongoza ekirime kino, kifuuke ekyettunzi eggwanga kyeriggyamu ensimbi.
Government yawera okulima n’okutunda amayirungi nga bagamba nti ekimera kino kyekivuddeko bangi okuyita ttembo olw’ekirungo ekitamiiza ekifumbekeddemu.
Mu 2017 abalimi bano nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Wakiso Miraa Growers and Dealers Association baddukira mu kkooti ya semateeka, nebaloopa government ya kuno obutatongoza kirime kino nekirimibwa mu mateeka, nga yerimbika mu kukiyita ebiragalalagala ebyóbulabe.
Abagasuubula bagamba nti amayirungi ddagala eriwedde emirimu sso si biragalagala nga government bwekkaatiriza.
Abalamuzi 5 aba kkooti etaputa semateeka nga bakulemberwamu amyuka sabalamuzi Richard Buteera baawulira omusango guno mu June omwaka oguwedde 2022, era nebategeeza nti ensala yaabwe yakuweebwa mu kiseera ekitali kigere.
Kooti eno yayisizza ekiwandiiko ekiraalika enjuyi mu musango guno okubaawo leero ngómusango gusalwa.
Abalimi b’agala kkooti erangirire nti ekirime kino sikyabulabe eri abakikozesa okuggyako okuwonya eddwadde, era kissibwe ne ku birime ebi kibe ekimu ku birime byettunzi ebiba birimwa mu ggwanga.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam