Kooti eragidde Kampuni ekola kukuziika abafudde eya Uganda Funeral Services Limited okuliyirira munnansi wa Buyindi Hirani Manji Kanji obukadde bwa shs 261, olw’emmotoka ya kampuni eno okumukoona.
Nga 21st December 2021, emmotoka ya kampuni eno number UAY 513Y yatomera Omuyindi Kanji eyali atambulira ku pikipiki ye number UEC 289N bwetyo nemutuusaako ebisago kumpi kufa.
Okusinziira ku katambi akaakwatibwa camera zokunguudo, kalaga ng’emmotoka ya kampuni eno eyali efumuuka obuweewo erumba omukono ogutaali gwayo, Kanji gyeyali avugira bwetyo nemusaabala.
Bwabadde alagira kampuni eno okuliwa, omulamuzi wa kkooti enkulu Musa Sekaana agambye nti omugoba w’emmotoka eno yali agezaako kuvugira ku ludda olutali lulwe, sso nga teyalina lukusa luyisa bidduka oba okuvugira ku ludda olutali lulwe.
Kkooti era ekizudde nti mmotoka eno bweyakoona Kanji, ddereeva waayo teyafaayo kuyimirira ate nga yamulumba ku Mukono gwe.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam