Kooti ya Buganda roadeyisizza ekibaluwa ki buli amulabako amukwate ku eyaliko president wa FDC Dr.Kiiza Besigye.
Besigye avunaanibwa neyavuganyako ku kifo ky’omubaka wa Lubaga South Samuel Lubega Mukaaku.
Ababiri bano bavunaanibwa musango gwa kukuma muliro mu bantu bekalakaase mu July 2023, olw’ebbeeyi y’ebintu eyali yekanamye.
Omulamuzi alagidde bakwatibwe olw’okwebalama okulabikako mu kooti.
Wabula Besigye ng’asinziira ku kibanja kye ekiriku mukutu ogwa twitter agambye nti ye eby’okuyitibwa mu kooti abitegedde nkya ya leero, nti era abadde tabimanyiiko.#