Kkooti ensukkulumu enywezezza ekibonerezo eky’okusibwa mu nkomyo emyaka 10 n’ennaku 10, ekyaweebwa eyali omuteesiteesi omukulu mu ministry ya government ezebitundu John Kashaka Muhanguzi, eyasingisibwa omusango gw’okwezibika ensimbi Obuwumbi 4 n’obukadde 200 ezaali ezokugulira ba Ssentebe b’ebyalo obugaali bu maanyi ga kifuba.
Kkooti era enywezezza ekibonerezo kyekimu ekyaweebwa eyali omubazi w’ebitabo mu ministry yeemu Henry Bamutura saako n’okuzza ensimbi ezo ezaabulankanyizibwa.
Abalamuzi ba kkooti ensukkulumu 5 abakulemberwamu Ssaabalamuzi Alphonse Owinnyi Dollo basizza kimu ng’enkuyege, nebanyweza ekibonerezo ekyaweebwa abantu bano bwebakizudde nti ensimbi baazibulankanya bombiriri.
Kyokka abalamuzi beggyerezza Sam Erongot eyali Amyuka commissioner avunanyizibwa kukutekeratekera government ez’ebitundu bwebakizudde nti yasibwa mubukyamu.
Mu mwaka gwa 2014 omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake nabakenuzi mu kiseera ekyo Catherine Bamugemereire abasatu bano yabakaloga emyaka 10 n’ennaku 10, lwakubulankanya ensimbi obuwumbi 4.2 billion government zeyali etaddewo okugula obugaali bu maanyi ga kifhba obwa ba ssentebe b’ebyalo, okusobola okulondoola entegeka y’akalulu ka 2011.
Kooti yakizuula nti abavunaanibwa baasalawo okuwa kampuni ya M/S AITEL ensimbi ezaali ez’okuleeta obugaali, wadde nga bank yali ebalabudde nti kampuni eno teyalina bisaanyizo byali bijiweesa nsimbi ezo.
Ensimbi ezo zaali zibaliriddwa okugula obugaali emitwalo 70,000 ezaali ez’okuwebwaba ssentebe b’ebyalo n’emiruka.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam