Kooti ekkirizza ekiwayi ky’ekibiina kya FDC ekituula e Najjanankumbi okugenda mu maaso n’enteekateeka z’okutuuza Ttabamiruka wabwe leero nga 06 October,2023.
Omulamuzi wa kooti enkulu Musa Ssekaana mu nsala gy’afulumirizza mu kiro ng’ayita ku mutimbagano, agambye nti ekiwayi kya FDC ekituula ku Katonga road ekyawaaba omusango nga kikulembeddwamu ssentebe w’ekibiina Wasswa Biriggwa, omusango kyaguteekayo kikeerezi so nga enteekateeka zonna zaali zaatandika dda ez’okutuuza Ttabamiruka.
Omulamuzi agambye nti omusango gwasibwayo nga 03 October,2023 nga waali wabulayo ennaku 2 zokka ttabamiruka atuule, so ng’obujulizi bwalaze nti enteekateeka z’okutuuza Ttabamiruka zaatandika mu July 2023, nga n’olwekyo tekiba kyabwenkanya okumuyimiriza ng’ebintu ebisinga byabadde biwedde okutegekebwa.
Ekiwayo ekituula ku Katonga Road nga kikulembeddwamu Ssentebe wa FDC Wasswa Biriggwa kyaddukira mu kooti nga kiwakanya enteekateeka za Ttabamiruka oyo nti abaamuyita tebaayita mu mateeka, era nga babadde bagala ne sentebe w’akakiiko k’okulonda mu FDC Boniface Toterebuka Bamwenda ayimirize eby’okulonda abakulembeze bokuntikko aba NEC.
Omulamuzi agambye nti omusango guno tegwawabwa mumutima mulungi era nga mwalimu okweyagaliza, nga n’olwekyo ensonga z’ekibiina zirina okusoosowazibwa okusinga okwesigama ku z’abantu kinoomu.
Enjawukana mu FDC zaabalukawo oluvannyuma lw’abamu ku bannakibiina omuli ssentebe Wasswa Biriggwa, Dr.Kiiza Besigye, lord mayor Erias Lukwago, omubaka Ssemujju Nganda, Salaamu Musumba n’abalala okulumiriza president wa FDC Patrick Amuriat ne Ssaabawandiisi okubeera mu lukwe lw’okutunda ekibiina kyabwe mu NRM.
Balumiriza nti n’ensimbi Amuriat zeyakozesa okuvuganya ku kifo kya president mu kalulu ka 2021 nti zaava mu kibiina kya NRM.
Ekyaddirira kwali kiwayi ekituula ku Katonga road okulonda obukulembeze obuggya bwebagamba bwebukulembera FDC, era lord Mayor Erias Lukwago yalondebwa nga president wa FDC ow’ekiseera okumala ebbanga lya myezi 6.
Oluvannyuma lw’ensala ya kooti, ekiwayi ekituula e Najjanankumbi nakyo kisuubirwa okulonda abakulembeze ba FDC abaggya.
Entalo mu kibiina kya FDC ekyakamala emyaka 19 kasookanga kitandikibwawo buli olukya zeyoongera kusajjuka.#