Eyali Ssenkulu w’ekittavvu ky’abakozi Richard Byarugaba asabye kkooti enkulu etaawulula enkaayana okukkiriza okukola ennoongosereza mu musango gweyaloopa Minister w’abakozi n’ekikula ky’abantu Betty Amongi gugattibweko neyamudidde mu bigere Patrick Ayota.
Byarugaba yakwatibwa ku nkoona Minister Amongi ngámulumiriza okwenyigira mu mivuyo mu kitongole ki NSSF, n’amusikiza eyali omumyuka we Patrick Ayota.
Byarugaba yalaba biri bityo, kwekuddukira mu kkooti n’awawabira Amongi gw’alumiriza okumugoba mu bukyamu.
Byarugaba yoomu yazeemu naloopa senkulu wa NSSF omuggya Patrick Ayota, gw’alumiriza nti naye yalondebwa mubukyamu.
Omusango guno gutandise okuwulirwa mu kkooti enkulu nga gukulirwa Musa Ssekaana.
Bannamateeka ba Byarugaba baasabye okukola ennongosereza mu mpaaba, minister Amongi agattibweko Ayota.
Omulamuzi Ssekaana enjuuyi zonna aziwadde wiiki 2 okuteekamu empoza ne kalonda yenna ku nsonga eno ate olwo nga 12th omwezi ogujja kkooti eddemu okutuula.
Kinnajjukirwa nti mu February wa 2023 akakiiko ka Parliament keggyeereza Byarugaba emivuyo mu kitongole kya NSSF era nekasemba olukiiko olufuzi olw’ekitongole okuzza obuggya contract ye.
Olukiiko olufuzi olwekitongole lwalagira Byarugaba n’omumyuka we Patrick ayota okuddizibwa mu bifo byabwe, nti naye Minisita Betty Amongi yazzaawo Ayota yekka.
Byarugaba ayagala kkooti erangirire nti byonna ebyakolebwa Minister Amongi byali wabweru w’amateeka era eyise ekiragiro ekimuzza mu kifo kye, saako bano okumuliyirira ensimbi zasasanyirizza mu musango guno.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam