Okuwulira emisango gy’ebyokulonda kwa babaka ba parliament n’obukiiko bwa government ez’ebitundu okwa 2021 egyatwalibwa mu kooti ejulirwamu kutandise okuwulirwa enkya ya leero.
Ogumu ku misango egisoose okuwulirwa gwe gwa Hamis Walusimbi Musoke awakanya obuwanguzi bwa Wakayima Musoke Hannington Nsereko omubaka wa Nansana Municipality.
Walusimbi agamba nti Wakayima talina buyigirize bumala, obumusobozesa okubeera mu kifo ekyo ng’omubaka wa parliament.
Wabula Wakayima ng’ayita mu bannamateeka be abakulembeddwamu Richard Latigo basabye kooti ejulirwamu egobe omusango guno, ng’agamba nti Walusimbi yaguwaaba obudde buyise.
Walusimbi asabye abalamuzi abakulembeddwamu amyuka Chief Justice Richard Buteera, nti bamuweeyo obudde obulala okwongera okunyweza okujulira kwe.
Kooti etaddewo olwa nga 24th March, 2022.