Kkooti ejulirwamu eragidde kkooti enkulu okuddamu okuwulira omusango gw’ebyokulonda kw’omubaka omukyala owa district ye Gomba, ogwaloopwa munnakibiina kya NUP Betty Ssentamu.
Betty Ssentamu mwannyina wa president wa NUP Robert Kyagulanyi Sentamu, awakanya obuwanguzi bwa Munnakibiina kya NRM Sylivia Nayebare ng’omubaka omulonde owa District ye Gomba.
Mu August w’omwaka ogwaggwa 2021, kkooti enkulu e Mpigi ng’ekulemberwa omulamuzi Richard Wabwire, yagoba omusango guno oluvannyuma lwokukizuula nti Betty Sentamu yalemererwa okusasula emitwalo 150,000 ez’empaabi ezeetagisa okuteekayo omusango mu kkooti.
Omuwaabi yali asasuddeko shs emitwalo 100,000 gyokka násigala ng’abanjibwa emitwalo 50,000=, bwatyo omulamuzi omusango naagugoba ng’agamba nti yali tatuukirizza bisaanyizo byakuwaaba musango mu kooti.
Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu 3 okubadde; Irene Mulyagonja, Elizabeth Musoke ne Monica Mugenyi bakkiriziganyiza ne bannamateeka ba Betty Sentamu nti kkooti enkulu yayolesa obunafu okumala gagoba omusango ku kasonga akatono ak’ensimbi emitwalo 50,000/= ezempaabi.
Abalamuzi bagambye nti wakiri omulamuzi yandibadde eragira omuwaabi okusasula ensimbi ezaali zisigaddeyo, mu kifo ky’okugoba omusango nga teguwuliddwa.
Abalamuzi bwebatyo balagidde Sentamu asasule emitwalo 50,000 egyasigalira,ate olwo omusango guddemu guwulirwe ku kkooti enkulu e Mpigi mu maaso gómulamuzi omulala.
Betty Sentamu asanyukidde ensala ya kkooti, era nágumya abalonzi be Gomba nti ne mu kkooti e Mpigi obuwanguzi baakubufuna.
Mu kalulu akaakubwa mu january wa 2021 omubaka Sylvia Nayebare yawangula n’obululu 30,253 ate munna NUP Sentamu bwebaali ku mbiranye n’afuna obululu 22, 657 ku bululu 55,643 obw’akubwa.
Wabula Betty Sentamu awakanya obuwanguzi bwa Nayebare gwalumiriza okumubba akalulu nókugulirira abalonzi.