Kkooti ejulirwamu emaze okuwulira emisango gyébyókulonda okuli ogwómubaka omukyala owa Mityana Joyce Bagala, nógwa Bukomansimbi North ogwa Dr. Christine Ndiwalana Nandagire, nesuubiza nti yakuwa ensala mu kiseera ekitali kyewala.
Munnakibiina kya NUP Joyce Bagala Ntwatwa, mwawakanyiza ensala ya kkooti enkulu e Mubende eyasazaamu obuwanguzi bwe, ng’omubaka omukyala owa District ye Mityana neragira akakiiko kebyokulonda kaddemu okuteekateeka okulonda okuggya.
Abalamuzi basatu aba kkooti eno abakulemberwamu Geofrey Kiryabwire bategeezezza nti b’akulangirira olunaku lwebanaawerako ensala, oluvannyuma lwa bannamateeka ku njuyi zonna okufundikira okuwaayo obujulizi bwonna mu musango guno.
Joyce Bagala eyaloopa omusango guno agambye nti obuwanguzi buli ku ludda lwe, nti kubanga kkooti enkulu teyina bujulizi bweyesigamako wadde okusazaamu obuwanguzi bwe.
Wabula Minisita Judith Nabakoba eyavaako kanaaluzaala womusango guno agambye nti mumativu n’obujulizi bannamateeka be bwebawadde kkooti ejulirwamu,nti bwakunyweza ekya kkooti enkulu byeyasalawo okuddamu akalulu okujjuza ekifo kino.
Mu kulonda okwaliwo omwaka oguwedde, Joyce Bagala yawangula n’obululu 64,633 ate Minisita Nabakooba eyakwata ekyokubiri nafuna obululu 48,322.
Mu ngeri yéemu kooti era emalirizza okuwulira omusango oguvunaanibwa omubaka omukyala owa Kayunga Erios Nantaba eyawawabirwa Jackline Kobusingye Birungi, ngágamba nti Nantaba talina buyigirize bumala.
Nantaba bamulumiriza okujingirira ebiwandiiko byóbuyigirize ebya S.6.
Omusango omulala oguwuliddwa gwe gwa Munnakibiina Kya NUP Dr. Christine Ndiwalana Nandagire mwawakanyiza ensala ya kkooti enkulu e Masaka, eyasazaamu obuwanguzi bwe ngomubaka wa Bukomansimbi North ngégamba nti empapula ze ez’obuyigirize zaali tezikwatagana bulungi.
Okusazaamu obuwanguzi bwe kyava ku munnakibiina Kya NRM Ruth Katushabe okumuloopa nti talina buyigirize bumufuula mubaka wa parliament, era kkooti nekkiriziganya naye neragira okulonda kuddibwemu.
Abalamuzi bebamu bagambye nti b’akuwa ensala mu musango guno mu kiseera kyebanabategeeza