Kooti enkulu egaanye okuyimbula Molly Katanga avunaanibwa okutemula bba Henry Katanga.
Omulamuzi Isaac Muwata agambye nti Molly Katanga emyaka gye gikyali gya wansi egitamulemesa kubeera mu kkomera, so nga n’abasawo mu komera tebanaleeta alipoota eraga nti tebalina busobozi bumujanjaba.
Molly Katanga omusango agugoberedde asinziira mu komera e Luzira, taleeteddwa mu kooti,
Omulamuzi Muwata agambye nti omusango guno abantu bonna betaaga okumanya gyegugwera, nga n’olwekyo abavunaanibwa balina okutandika okwewozaako okuva nga 02 July,2024.
Obujulizi obuli mu kooti bulumiriza Molly Katanga okukuba bba amasasi agaamuttira mu maka gabwe agasangibwa ku Chwa II Road e Mbuya nga 02 November,20223.
Avunaanibwa ne bawala be 2, Patricia Kakwanzi ne Martha Nkwanzi, omukozi we waka Goerge Amanyire n’omusawo okuva ku Bugolobi medical hospital Charles Otai abagambibwa nti benyigira mu kugezaako okubuzaabuza obujulizi.
Abana kooti yabayimbula ku kakalu ka kooti ka bukadde bwa shs bubiri.
Bisakiddwa: Betty Zziwa