Abeepisikoopi mu Eklezia ya Uganda batangaazizza ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Vatican ekikwata ku mukisa ogugabwa Abasseserdooti, abantu abamu kyebaatapuse nti Omutukuvu Ppaapa yabakkirizza okuwa omukisa “abafumbo” ab’ekikula ekimu.
Mu bubaka bwabwe obw’amazaalibwa ga Yezu Kristu ag’omwaka guno 2023 obusomeddwa Ssentebe w’Olukiiko lw’Abeepisikoopi mu Uganda olwa Uganda Episcopal Conference, Rt. Rev. Dr. Joseph Anthony Zziwa era omwepisikoopi wa Kiyinda Mityana, bakinogaanyizza nti Eklezia teyinza kuva ku njigiriza yaayo ey’amasakalamentu.
Dr. Zziwa agambye nti Essakramentu lya Matrimunio lyeryokka eritukuza obufumbo ate nga bulina kuba bwa musajja n’omukazi abaagalana era nga bakkiriziganyizza okubeera abafumbo.
Agambye nti mu mbeera eno ababiri bateekwa okuba nga baluubirira n’okuzaala abaana.
“”Ppaapa tannakyusa ssakramentu lya Matrimunio..” era olunaku lw’amazaalibwa tulutambuliza ku mulamwa “Omwana atuzaaliddwa…”, azaalibwa omukazi Maria n’omusajja Yozefu”.
Bishop Zziwa agambye nti ekiwandiiko kya paapa bwekyagudde ku “balabe” ba Eklezia olwo nebakuba gudiikudde, so nga tebasoose kutegeera butuufu bwakyo.
“Bannaffe abasiyazi nabo basobola okutuukirala Omusaaserdooti okusabirwa, tetubagoba singa bajja tubasabira Omukama abakyuse batereere badde ku kituufu, ekyo Ppaapa kyatusaba.”
Dr Zziwa ategeezezza nti Eklezia egaba omukisa mu ngeri ez’enjawulo, Kale nga omuntu yenna asobola okusaba Omusaaserdooti omukuwa omukisa.
Ebyo nga bikyali awo Dr Joseph Anthony Zziwa yennyamidde olw’abannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya government olw’okubateeka ku nninga nti baagaana okwetaba ku mukolo gwabwe ogw’okusabira eddembe ly’obuntu okubukala mu ggwanga, n’agamba nti ebbaluwa ebayita tebaagifuna (aba Klezia) bwatyo nabasaba okubeetondera olwokubakomerera emisumaali egitali gyabwe.
“Omukolo ogwo nange nnagulabira ku TV, nempulira ng’abakulu boogeza maanyi nti abakulembeze b’eddiini baagaana okujja okutusabira, … bannange ffe tebaatuyita era tetusobola kugenda ku mukolo kwetutayitiddwa”
Bannabyabufuzi ab’ekiniina kya NUP n’ebibiina ebirala ku ludda oluvuganya government, nga 20 December,2023 baategeka okusabira eggwanga n’okusabira abantu baabwe abaakwatibwa n’okuwambibwa, eno abakulembeze baabyo gyebaateera akaka, nga bemulugunya olw’abakulembeze b’eddiini bebaayita okukulemberamu okusaba ku mukolo guno obutalabikako.
Bannaddiini mu Eklezia Katulika basabye banna Uganda bannyikize okwagalana obumu n’obwenkanya.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.