
Kkooti enkulu e Masaka eragidde ekitongole ky’amakomera mu Uganda mu bwangu okukkiriza ababaka Allan Ssewannyana ne Muhammad Ssegiriinya bajjabjabibwe abasawo bebeesiimidde kyokka nga balondoolwa government.
Munnamateeka w’ababaka bano Shamim Malende agambye nti omubaka Ssegiriinya tareeteddwa ku mutimbagano gwa zoom kwetaba mu lutuula lwa kkooti olw’embeeraye obutaba nnungi nti kyokka ne Allan yadde ateereddwa ku zoom naye naye embeeraye sinnungi.Kkooti etaddewo olwa nga 23 omwezi guno abawawaabirwa lwebalitandika okwewozaako.