Omuzannyi w’omupiira munnayuganda Keziron Kizito mu butongole yegasse ku club ya Kansanshi Dynamos egucangira mu liigi ya babinywera eya Zambia.
Keziron Kizito okugenda mu Kansanshi Dynamos avudde mu club ya Zesco United, era eno asindikiddwayo ku bwazike okutuuka kunkomerero ya season eno.
Zesco United esindise ku bwazike abazannyi 4 okuli ne Keziron Kizito abadde takyawebwa budde bumala kuzannyira club eno, olw’omutindo ogubadde guguddemu.
Keziron Kizito ajjukirwa okuzanyirako club endala okuli Vipers ne KCCA eza Uganda, Kerala Blasters eya Buyindi ne Buildcoin eya Zambia.
Kansanshi Dynamos gy’agenzemu eri mu kifo kya 12 mu kiseera kino okuva mu mipiira 20, ng’esigaddeyo emipiira 14 okumalako season.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe