Ekibinja ky’abalamazi 103 okuva mu ssaza lya ekereziya erya Kiyinda Mityana kisitudde mu kiro ekikesezza leero nga 13 May,2024 okwolekera ensi entukuvu Rome.
Abalamazi baweze nti nga batuuse ew’omutukuvu paapa bakukozesa omukisa guno okuwanjagira omukama ayongere okussa obusaasizi bwe ku Uganda agitaase ebikolwa ebyekko ebyeyongera.
Abalamazi bakulembeddwamu bwanamukulu wa Mityana Cathederal parish Rev. Fr.Stephen Lusiba ne Ssabakristu era nga ye Minister wa government ez’ebitundu mu bwakabaka bwa Buganda Oweekitiibwa Joseph Kawuki ne kabiite we Jacinta Kawuki.
Basiibuddwa n’ekitambiro kya missa ekiyimbiddwa omusumba bishop Anthony Zziwa, era ababuulidde nti e Roma tebagenze kulambula bulambuzi wabula okwongera okwegayirira omukama.
Abalamazi bano basuubira okutonnya mu nsi entukuvu mu kiro kya leero, eno bakukulungulayo wiiki namba. Ku Wednesday nga 15 May,2024 basuubirwa okubeera ku lusegere n’omulangira wa ekereziya papa Francis bwanaaba ayogerako eri ensi yonna.
Okulamaga kuno kyekimu ku bikujjuko ebikulembeddemu ebikujjuko ebikulu, ng’ekigo ekikulu ekye ssaza lino ekya Mityana Cathederal parish kwekigenda okujaguliza emyaka 60 nga bafuuse ekigo ku nkomerero y’omwezi gwa July 2024.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi