King Charles III atikiddwa n’afuuka King owa 40 owa Nnamulondo y’e Bungereza.
Asikidde Nnyina Queen Elizabeth II.
King Charles amaze emyaka 70 nga ye mulangira alinze engoma ya Bungereza.
Yazaalibwa nga 17 November 1948.
Nnyina Queen Elizabeth II agenda okutikkirwa nga 2 June 1953, King Charles II yalina emyaka 4 egy’obukulu.
King Charles III atikiddwa mu kanisa ya Westminister Abby wamu ne mukyala we Camilla the Queen mu kibuga london.
Archbishop we Canterbury Justin Welby amwambazza engule eya St.Edward’s crown,olwo abantu bonna nebasaakaanya nti “God save the King”
Engule eno emutikiddwa efaananira ddala ne jajja we King Charles II gyeyatikkirwa.
Engule eno yasimbulizibwa ku ngule efaanana ey’omutukuvu Edward gyeyayambalanga. King Charles II yamusanyusa n’alagira naye gyebaba bamukolera era kwekwava okugituuma erinnya erya St.Edward crown.
Ku matikkira ga King Charles III wabaddewo okukuba emizinga mu bibuga bya Bungereza ebyenjawulo
Ebidde n’emizira bikubuddwa mu kanisa ya Westminister Abby okumala eddakiika bbiri.
Omukolo gw’amatikkirwa ga King Charles III getabyeko abantu abasoba mu 2000, omuli abakulembeze ab’ennono, abakulembeze b’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza, n’abakungu abalala bangi ddala okwetoloola ensi yonna.#