Abantu 3 bagudde mu nnyanja Kijjanabalola mu district ye Rakai mu Kooki.
Omubalami gumu (omulambo gw’omuntu afiiridde mu mazzi) gwegwakannyululwayo, ababiri tebalabikako.
Ssalongo Edison ne mutabani we Wasswa Julius n’omuzzukulu Mpulire Daniel ow’emyaka 13 babadde basaabalira mu kaato ekika kya Ppala, omuyaga negukakuba nekabayiwa mu nnyanja.
Omubalami gwa Mpulire Daniel gwokka gwegwakazuulibwa, negunnyululwayo mu mazzi.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi